Numbers 3:5-37

Omuwendo gw’Abaleevi n’Emirimu gyabwe

5Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 6 a“Leeta ab’omu kika kya Leevi
Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona.
obakwase Alooni kabona bamuweerezenga.
7 cBanaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. 8Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. 9 dAbaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. 10 eOnoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”

11 Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, 12 f“Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, 13 gkubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”

14Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, 15 h“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe
Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).
. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.”
16Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

17 jGano ge mannya ga batabani ba Leevi:
Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.
18 kGano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali:
Libuni ne Simeeyi.
19 lBano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali:
Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
20 mBano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali:
Makuli ne Musi.
Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.

21 nMu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.
22Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).
23Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
24Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
25 oAbagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, 26 pn’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.

27 qMu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.
28Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga
ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu
(8,600).
Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
29 sAb’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
30Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.
31 tAbakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
32Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.

33 uMu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.
34Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).
35 vOmukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri;
Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
36 wBe baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. 37Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.
Copyright information for LugEEEE